Enjiri ekufuula binojjo oba ekujjako kikolimo?

Editors Note: In Africa, the acceleration of the “health and wealth” prosperity teaching happens most through native languages, in this one-off article, I attempt to engage the phenomena in the widely understood language of my fellow countrymen – Luganda.  

st

Bya Edimandi Ssemakula.

Juuzi mba nteze ka leediyo kange ngenda okuwulira omusumba nga agamba abagoberezi be nti tebalina kutuula mu bumotokamotoka, mbu kubanga bayibuli egamba mu Beefeso 2:6 nti abalokole twatuula ne Yesu mu bire.

Kyankuba wala.

Naye ate n’ekinzijukiza engeri enjiri gyesabuluddwaamu enaku zino. Abasumba baffe abanene (Wadde nali manyi Yesu y’emunene) wano mu Kampala baddira eby’awandikibwa nebabisonsekamu emilamwa gyaabwe.

Mu Yokaana essuula 3:6 bayibuli etugamba nga okulokoka bwe kitegeeza okuzalibwa obujja mu mwooyo. Ekanisa y’aleero yo egamba tekimala, olina okwambulwako eby’ewammwe, emizimu, ebikoligo, byebakunaaza, ne babanga abagamba nti Yesu alina byeyerabira okufiirira ku musaalaba?

Kati neweebuza tutwaale ki tuleke ki, bibala bya musalaba oba magezi ga baana ba Bantu? Abalala balangirira Prado, nti naawe olina okwevuga omwaka guno, n’olaba omulokole nga alebunkana n’ebidduka nga gyobera Yelusalemi mwalimu zi galagi. Emotoka ssi mbi, entambula tugifune, naye ate tuleke kuvuuniika mulamwa gwa bayibuli.

Ababuulizi mu kifo ky’okunyonnyola abakkiriza kye kitegeeza okufuuka ekitonde ekiggya mu Kristo, okulokoka, oba okuzalibwa obujja, nga endagaano empya bwenyonnyola mu bitabo 23 bilamba, baafuuka bawi ba magezi.

Abalala baafuuka bakafulu mu kusesa abagoberezi, bakirako bannakatemba, ate abandi nebafuuka bakugu mu kunokolayo ensonga ezikwaata ku bulamu obwabulijjo, embeera yensi, naddala ebikwata abantu kumitima.

Naye ate jjukira, ne Sitaani ayogera ebikwata abantu ku mitima, simanyi oba akaama keyakuba Adamu ne Kaawa okajjukira? Awo nno we wetuwabira, mulokole. Yesu gwe mulamwa gwa bayibuli yonna; endagaano enkadde yeesunga Mulokozi, n’empya enyonyola mulokozi.

Obulamu bw’omukristayo busibuka mu Yesu , essira nekigendererwa Yesu kubanga mwetugya amaanyi agatusobozesa okutambula nga abalokole.

Yesu gwe musinji gwetusomerako ebyawandiikibwa.

Obulamu bwa Yesu, okufa n’mazukira ge bye tukulembeza, olw’onno nebituwa omulamwa nga bwe byawa abatume. Kati bwetumala obudde nga tusokoola bayibuli tusobole okuziyiza ebizibu bya bantu mu kifo ky’okulangirira amawulire amalungi agakwaata ku Yesu, tuba tufuuse bawi ba magezi na basomesa ba mpisa, si babuulizi ba njiri.

Atte jjukira nti gwe tozuukirangako, n’ekibi tokiwangulanga lubeerera, Yesu yekka.

Kati nno buulira yye, ssi mpisa zokka, sooka na Yesu, ssi na mpisa. Kifuulannenge atandika na mpisa, nasembyayo Yesu, oluusi n’obutamwogerako.

Eyo teba njiri. Waliwo naffe abalowooza nti okuboonabona kufa, netwerabira nti ekibi kyayingira ensi(baluumi 5:12) n’olweekyo endwadde, okufa, n’emitawaana emirala n’abalokole bibalumba.

Kati gwe bwomala obudde nga onoonya byamagero, n’abafere we bajja okukusanga, anti jukira ebizibu by’abantu ye kapito ya Bafere, baagala obikke bayibuli nga eno bwe basomba obulango ku ma Tivvi ne zi leediyo zaabwe.

Ku Kanisa tuvayo saawa kumi, tusiibye ebisiibo netubimalayo, naye essanyu litwebalamye, amaka gasasika, kumulimu ffe tusinga obugayaavu, enno tuwanika baasa Namboole. Enjiri tugimanyi ab’oluganda?

Menye ki ndeke ki, sijja kulombojja mbimaleyo, Naawe byolabye mu makanisa obirabye. Emboozi teggwa makerenda, naye ensonga enkulu yiino. Enjiri élangirira Yesu (Yokaana 5:39), okulokoka kitegeeza Yesu, n’e Yesu kulokoka. Mulokole olina okwejjukanya enjiri eyakulokola (bakolinso 15:3 ) – gyambale, gyennyikemu, ginaabe.

Omulokole alina kwenyumiriza mu musaalaba (galatiya 6:14), sso ssi kukulembeza mbeera, mbeera mbeera, buli sande mbeera.

Bayibuli esomesa nti Mukama akozesa embeera enzibu zetuyitamu okutufuula nga Kristo(Baluumi 8:28), kyokka ffe buli luyi tutoloka mbeera. Eyo njiri?

Okufuuka nga Kristo gwe mulamwa gw’obulokozi (Baluumi8:29).

Guno omulamwa gwetuliko gwani yye? Musumba, Sigala ku mulamwa gwa bayibuli, leka embuzi mu Kanisa zisumagire, naye nga endiga ziridde. Tuve mu katemba, tosanyusa mbuzi, liisa ndiga.

Okusaba n’okusiiba sibibi, naye bwoba tewennyise mu njiri, ogya kusiibira bweerere. Essaala zo Yesu yekka yazambusa ewa Kitaffe, n’olweekyo sooka omutegeere.

Enjiri ejjawo kikolimo kya kibi, ssi bubonero bwa kibi.

Ennaku zino twadda mu kulwanyisa bubonero, ndwadde, bwavu,anti bwebitagenda nga Yesu tusuula eri, enjiri tugimanyi? Tusomesa kugoba mizimu na myoyo mibi mukifo ky’okusomesa abakkiriza kye Bali mu Kristu, olw’onno abagoberezi nebatambulira mu kutya Yesu kweyafa okubalokola.

Naffe abagoberezi, banange tuddeyo mu bayibuli, tuve mu kululunkanira omugaati tudemu okulya omugaati gw’obulamu, Yesu. (Yokaana 6:35) Abantu bayagga, baagala kigambo, kyokka ffe tuli mu bukodyo na kuwa Magezi mukifo ky’okubuulira enjiri elokola.

Tulinga Abagalatiya bayibuli beeyogerako, anti tuli mu bulombolombo.

Twegula mu banabyabufuzi, gyoobera Kayisaali yanaazimba ekkanisa. Ebisaawe tujjuza, naye emyoyo tulyoowa? Balokole tuzuukuke tuddeyo kunjiri, ensi evunda, kyokka abantu tebalina wakuddukira.

Anti balaba naffe tuli mu katemba eluuyi eno. Ekyewunyisa twogera kunjiri, naye enjiri tugiteegera? Enjiri tekufuula binojjo, ekujjakko kikolimo kya kibi (bakolinso 15:56). Waliwo eky’obugagga ekisinga ekyo?

Kale naawe taasa ekkanisa, kano kongereyo, obunyise enjiri etalimu jjuule Yesu gyeyatulekera.

Subscribe
Notify of
guest
4 Comments
Most Voted
Newest Oldest
Inline Feedbacks
View all comments
PM Njoroge
PM Njoroge
6 years ago

Amazing writer you’ll always be and though I cant make an iota of clues of what you mean in Luganda, I believe its full of your normal wisecracks.

Keep it up.

________________________________

Marjorie
Marjorie
6 years ago

Wow wow thank you for this wonderful piece.Jesus Christ is the prize everything else is secondary.Webale kutuwereza kantu kano.And kudos for being able to write Luganda.Speaking it is one thing being able to write all this wow.????

Stay Informed

If like me, remembering website names is trouble for you, how about we talk through email soon?

4
0
Would love your thoughts, please comment.x
()
x

What are you Searching for?